Omusajja yafiirwako mukyalawe n'asigala yekka, omu ku baana be nga yali akolera mu Poliisi yatwala Nangobi nga omukozi wa waka ayambeko kitaabwe mu kukola emirimu gy'awaka n'okumukuumako era nga asasulwa emitwalo 50,000 buli mwezi gye byakkira nga Nangobi agudde mu mukwano ne taata waabwe era ne bazaala n'abaana babiri omu muwala omulala yali mulenzi kino kyanyiiza nnyo abaana bamuzeeyi era agamba baamutulugunya nnyo mukavuvungano kano omwan we omulenzi yaffa mungeri gyatateegeera n'okutuusa kati kikyamubobbya omutwe nga bwabinyumya.