Pulezidenti wa Democratic Party, Norbert Mao abyogeredde ku ofiisi z’ekibiina e Mmengo ku Balintuma Road n’alaga ne we batuuse mu kweteekerateekera akalulu kabonna ak’omwaka ogujja nga abantu 81 be baakaggyayo empapula okuvuganya ku kkaadi y’ekibiina.