Kyabazinga William Gabula Nadiope owookuna ayanjulidde pulezidenti Museveni ne mukyalawe Janet Kataha Museveni Inhebantu Jovia Mutesi mu butongole. Babadde mu maka g’obwapulezidenti akawungeezi k’eggulo nga pulezidenti abawadde ente 100 okubajagulizaako.