Ekkanisa ya Uganda etudde okulaba ekiddako olw'abavujjirizi  okutiisatiisa okubasalako obuyambi

Ekkanisa ya Uganda, etandise okutuuza enkiiko okusalira awamu amagezi ku ngeri gye bagenda okuyimirizaawo emirimu gy'ekkanisa

Ekkanisa ya Uganda etudde okulaba ekiddako olw'abavujjirizi  okutiisatiisa okubasalako obuyambi
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Uganda

Ekkanisa ya Uganda, etandise okutuuza enkiiko okusalira awamu amagezi ku ngeri gye bagenda okuyimirizaawo emirimu gy'ekkanisa oluvannyuma lw'abagabi b'obuyambi okukendeeza obuyambi bwe babadde babawa.

Abamu ku bakulu abaatudde mu lukiiko.

Abamu ku bakulu abaatudde mu lukiiko.

Olukiiko lwatudde ku ntandikwa ya wiiki eno, ku kitebe ky'Obulabirizi e Namirembe, era nga lwakubiriziriddwa Ssaabalabirizi Dr. Stephen Kazimba Mugalu.

Olukiiko lwayisizza ekiteeso Ekkanisa etandike okukozesa ebintu byayo ebikalu okugeza nga ettaka, okusobola okutandikawo pulojekiti ezinaavaamu ejjamba erinaatambuza emirimu gyayo.

Olukiiko era lwateesezza okufunayo bamusigansimbi basobole okukulaakulanya ettaka lyabwe, kyokka nga kino kikolebwa mu ngeri ya bwerufu ddala.

Ssentebe w'olukiiko oluvunaanyizibwa ku by'obuggagga bw'ekkanisa, Ruth Kombe Kizza yakkaatirizza amakulu agali mu kunyweza ebyenfuna n'ennyingiza  y'ekkanisa okusobola okuyimirizaawo emirimu gyayo mu kiseera ekiwanvuko.

Abakulu abaakiise, oluvannyuma lw'olukiiko.

Abakulu abaakiise, oluvannyuma lw'olukiiko.

Ddayirekita w'eby'ensimbi n'okuteekerateekera ekkanisa, Balaam Muheebwa era nga ye muwanika w'Ekkanisa yasembye ebiteeso ebyaleeteddwa era n'asaba enteekateeka zikolebwe mu bwangu balabe engeri y'okutandika okubuteeka mu nkola.

Baategeezezza nti abagabi b'obuyambi bazze babatiisatiisa okubasalako obuyambi  nga babalanga okuwagira etteeka ku bufumbo bw'ebikukujju.

Abalala abeetabye mu lukiiko luno ye; Rev.Canon William Ongeng (Omuwandiisi w'Ekkanisa ya Uganda), Rev. Andrew Agaba (Dayirekita wa mayumba n'enkulaakulana ya bantu), Jane Kiggundu (Akulira abakozi), Rev. Chrysostom Akwech (Maneja w'ettendekero lya Lweza Training and Conference Center).

Abalala kwabaddeko; Canon Ivan Mbabazi Batuma, Robert Owagonza, Dison Bosco Okuli, Peter Asea, Arthur Babu Muguzi, ne Rosette Ssempala.

 

 

Login to begin your journey to our premium content