Bukedde TV ereese akazannyo akapya akalimu ebinnonnoggo ; VJ Junior y'agenda okukawoomesa

BUKEDDE TV esabuukuludde akazannyo akapya, nga VJ Junior “The Incredible” y’agenda okukoogerera.

Bukedde TV ereese akazannyo akapya akalimu ebinnonnoggo ; VJ Junior y'agenda okukawoomesa
By Lawrence Kizito
Journalists @New Vision
#Bukedde TV #Kazannyo #VJ Junior

Bukedde TV, eng'anzi era ey'omuntu wabulijjo esabuukuludde akazannyo akapya, nga VJ Junior “The Incredible” y’agenda okukoogerera.

VJ Junior agenda okukoogerera. (Ekifaananyi kya Claire Muhindo, Sqoop)

VJ Junior agenda okukoogerera. (Ekifaananyi kya Claire Muhindo, Sqoop)

Akazannyo kano Akafiripino, akayitibwa “Family Jewels”, kagenda kutandika okulagibwa ku Bukedde ttivvi okutandika ne Mmande nga May 22, 2023, okuva ssaawa 3;00 okutuusa  4;00 ez’ekiro, kakuyingize amawulire go amaganzi Agataliiko Nfuufu okuva ku Mmande paka ku Ssande.

Eby’okuyiga mu kazannyo kano bingi nnyo, era kalungi eri buli muntu mu ffamire okuva ku baana paka ku bazadde baabwe, ate tekaliimu byesittaza.

Olugero lwa kazannyo kano, lwogera ku musajja alina ffamire esattu okuli emu eyabeeranga mu bulamu obw’okwejalabya, endala ng’erimu abantu abakozi ennyo, ate ey’okusatu ng’erimu abantu abaavu naye ng’omusajja abaagala nnyo era nga b’asinga okuwa obudde.

 

Tosubwa okulaba obunkenke omusajja ono mwe yatambuliranga olyoke ofunemu eky’okuyiga ku ngeri gy’oyinza okuteekateekamu abantu bo nga tonnava mu nsi.  

Era tosubwa okulaba abazannyi bo abalungi omuli Carla Angeline Reyes, akuzanyidde Obufiripino obuwerako omuli Love of my Life, My Destiny, My husband’s Lover, Because of you, n’obulala.

Omukugu mu kwogerera obuzannyo mu Uganda VJ Junior “The Incredible” akomyewo ku Bukedde ttivvi n’amaanyi mangi okukutuusaako akazannyo kano mu lulimi Oluganda.

Jjukira nti Junior ye kafulu mu kwogerera obuzannyo obw’ekika kino era ye yabutandika ng’ali ku Bukedde TV.

Junior yagambye nti amaanyi g’azze nago ku luno tegabangawo, n’asuubiza nti waakuteekamu ebirungo ng’ayogerera akazannyo kano, osobole okunyumirwa nga bwoyiga.

Buli lwamukaaga akawungeezi, akazannyo kano kajja kuddibwangamu nga bwe kazze kalagibwa wiiki ennamba, okukuyamba okwejjukanya n’okulaba ebyakuyitako.