Amyuka ssentebe wa NRM mu bugwanjuba bw’eggwanga Jonard Asiimwe yeebazizza abantu mu kitundu ekyo olw’okwaniriza pulezidenti Museveni mu bungi ng’agenzeeyo okunoonya akalulu. Addamu okukuyega abantu mu kitundu ekyo olunaku olw’enkya nga waakukuba enkungaana e Kagadi ne Kikuube.