Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye gavumenti eyawakati okuteekawo omutemwa mu mbalirira ye ggwanga eddako okusobola okumaliriza amasiro ge Kasubi. Okwogera bino Katikkiro abadde awa alipoota ku ngeri emirimu gyegitambulamu mu lukiiko olutudde ku Bulange e Mmengo.