Gavumenti ya South Sudan kyaddaaki etadde loole 26 kwezo e 92 ezaali zaaboyebwa okumala omwezi mulamba mu ggwanga eryo.Zino zaali zaakwatibwa ku bigambibwa nti zaali zitwala emmere naddala obuwunga obugambibwa okuba nti bulimu ekirungo eky’obulabe ekya aflatoxins.