Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asabye amawanga agaakula edda okuyamba ku mawanga agakyakula nga bawagira enteekateeka ez’okuzzaawo obutonde bwensi. Bibadde mu bubaka bwatisse ssaabaminisita Robinah Nabbanja bwamukiikiridde mu lukungaana lwa United Nations Climate summit e Dubai.