Poliisi ekutte ddereeva eyalabikidde mu katambi ng’ayagala okutomera omusirikale wa tulafiki. Bino kizuuse nti byali ku bitaala ku masangaanzira g’ebitaala bya Jinja Road. Ddereeva ono Poliisi yaakumuggulako emisango esatu omuli n’ogwokugezaako okutta omusirikale.