Ssente ezigambibwa okuva ewa Pulezidenti Museveni zongedde okuyuza obulele abanene mu kibiina kya FDC.Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina kino Rtd. Col.Kiiza Besigye ayongedde okusajjula embeera bw’ayasizza ebyama nga ssaabawandiisi w’ekibiina Nandala Mafabi bweyamwambalira ng’amubuuza ku bisawo bya ssente zino. Pulezidenti w’ekibiina kya FDC Engineer Patrick Oboi Amuriat ne ssabawandiisi Nathan Nandala Mafabi balumirizza amyuka ssentebe wa FDC mu Buganda Ssaalongo Erias Lukwago n’omwogezi w’ekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda obukuusa. Minisita w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi asabye aba FDC boogere amazima kuwa gye baggya ssente ze bagamba nti zicankalanyizza ekibiina kyabwe. Baryomunsi agamba nti bbo nga NRM tebawangako ba FDC bisawo bya ssente.