Ebula ssaawa zokka ekibanyi kigwe n’amenvu ku Wonder World e Kansanga olunaku lw’enkya ng’abakontanyi battunka mu mpaka za Miss ne Mr.Bukedde okuwangula ekyapa ky’ettaka ssaako n’ensimbi obukadde butaano ezateekebwawo eri abawanguzi.Okuyingira kwa mitwalo 20,000 ate ababede emitwalo 50,000.