Abantu bataano abatannamanyika bafiiridde mu nnyanja Nalubaale oluvanyuma lwe Kinaala kwe babade basabalira okubbira. Ekinaala kino kibadde kiva ku kazinga Kisaba e Kalangala nga kizza ku mwaalo gwe Katosi mu district ye Mukono olwo ne n’ekifuna obuzibu.