Bannamateeka abasiraamu mu kibiina ekibagatta bategeezezza nti bagenda mu mbuga z’amateeka okuvunaana abasirikale ssekinnomu abaalumba amaka ga Sheikh Yunus Kamoga nga 2 omwezi guno. Bagamba nti ebikolwa ebyakolebwayo byali bityoboola eddembe ly’obuntu.