Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza bannabyabufuzi okutuulanga basalewo ku ngeri ey’okugonjoola obutakkaanya okusinga okusingaana ebitogi. Abyogeredde ku Bulange e Mmengo ng’omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga n’owa Busiro East Medard Lubega Ssegona bagenzeeyo okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka