Waliwo ekibinja ky’abazadde n’abaana baabwe bali mu maziga oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo ekya UNEB okukwata ebigezo by’abaana baabwe abawera 50 mu ngeri bbo gyebagambye nti teriimu bwenkanya. Bano abeesitudde nebajja ku kitebe kyaffe beekokkola abakulira essomero lya Precious Primary school Katooke okubakweka ekituufu.