Omusomo ogw’abasomesa abawanguzi b’empaka z’abasomesa abasukkulumye ku balala ezimanyiddwa nga “Teachers’ Making a Difference” ezitegekebwa Vision Group, ekitebe kya Ireland mu Uganda ne kampuni ya Travelcare ogw’ennaku ebbiri ogubadde gubumbujjira wano ku kitebe kyaffe mu Kampala gukomekkerezeddwa. Ebyo webibereddewo ng’empaka z’omusomesa asukkulumye zikomekkerezebwa nkya ng’abawabuzi baakuweebwa ebirabo.