Abamu ku bammemba abatuula ku lukiiko lwa General Asembly olwa Uganda Muslim Suprem Council bakkaanyizza awatali kwekutulamu nti Mufti Sheikh Shaban Ramathan Mubajje addeko ebbali okumala emyezi mukaaga nga bwebeetegereza ensonga z’emmaali y’obusiraamu. Bammemba 183 ku abo e 264 babadde mu lukiiko olutudde e Ggangu mu Wakiso nga balonze omumyukawe asooka okugira ng’addukanya emirimu.