jajja atuuyanidde mu kkooti. Bamusomedde emisango. Kuliko ogw'okusobya ku bazzukulu. - Gavumenti etaddewo obuwumbi 50. Ow'ebyensimbi Goobi awabudde ku bazijja mu UDB. Era Gavumenti etaddewo obusoba mu buwumbi 3 okukulakulanya abakyala. - Alipoota ku bubenje mu kibuga. Aba UTOF basisinkanye aba KCCA. - Eby'amabaati ge Karamoja agabbibwa. Akakiiko kakunyizza amyuuka Pulezidenti Jessica Alupo. Aliyise kkobaane lya kubaswaaza. - Obubbi bw'okumutimbagano. Poliisi erabudde Bannayuganda. Etendese abanabwenganga. - Ebigezo bya UBUTEB bifulumye. Babyanjulidde Minisita Muyingo. Abagumizza nti Gavumenti yaakubawa ssente. - Akeetalo ka Paasika kabizadde. Ebbeeyi y'emmere erinnye . Enkota tekyagulikako. - Okwetegekera amazuukira ga Kristo. Omulabirizi KAGODO awadde obubaka. Yennyamidde olw'abemitima egy'ekko. - Okunnyikiza Mwoyo gwa Ggwanga. Abayizi abakuguse bayisiddwa. Bakubiriziddwa ku nneeyisa.