Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde obweyamo eri Obuganda nti wasigadde ekiseera kino balangirire ng’ennyumba ya Muzibu Azaala Mpanga bwejiddwako engalo. Katikkiro bino ebyogedde mu kulambula emirimu wegituuse mukumaliriza ennyumba eno mu masiro g’e Kasubi.