Minisita w’ebyamawulire, tekinologiya n’okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi alabudde abasomesa obutageza kwegugunga ng’olusoma olusooka lwakaggulwawo kubanga gavumenti ensonga zabwe ezimanyi era zijja kukolwako. Asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire mu Kampala ng’ayanjula ebimu ku byasaliddwawo olukiiko lw’abaminisita wiiki eno.