Vidiyo

Agabuutikidde: FULL BULLETIN

Omuzikiti gw’e Kampala Mukadde guzitooweredde omugagga n’aguggya ku lukalala lw’ebintu byobusiraamu ebigenda okutundibwa ku nnyondo olw’ebbanja lya buwumbi 19. Kyokka bannamateeka abasiraamu bagamba wandibaawe ebikusike era nti kyakdiba nga kigendereddwa kuggya basiraamu ku mulamwa. Poliisi y’e Mukono esanze akaseera akazibu okugumbulula abakozi aba kkampuni ya Atlas esangibwa ku kyalo Ssenyi Ddegeya mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono ababadde bataamye nga baagala okugajambula omukuumi okuva mu kampuni ya corporate security company akubye munnaabwe amasasi agamuttiddewo. Kkooti enkulu mu Kampala ekalize omusajja emyaka 105 oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango egy’okuganza abawala ate n’amala n’abatta.Kitegerekese nga mu beyatta mwalimu eyalina ebbujje nga lino nalyo yalitta.Bamusibye n’owa boda boda eyamuyambangako okutambuza emirambo. Sipiika wa palamenti Annet Anitah Among asambazze ebizze biyitingana nti ababaka mu palamenti baliko ensimbi obukadde 100 zebanaatera okuweebwa nga akasiimo okuyisa ssente zennyongereza obuwumbi 3. 5trillion.Kino kiddiridde Pulezidenti w’ekibiina kya NUP olunaku lw’eggulo okulabula ababakabe obutetantala kulya ssente zino. Akabenje katuze abantu ku luguudo lw’e Masaka era nga babiri ku bbo bamunyumba emu.Kitegerekese nga babadde bagenda kuziika muganda waabwe,. Bannauganda balabuddwa ku kuvugisa ekimama naddala mu biseera byetuyingidde eby’enaku enkulu n’akayisanyo k’ebikujjuko ebimalako omwaka. Okulabula kuno kukoleddwa minisitule y’ebyentambula ne poliisi y’okunguudo nga basinziira mu lukungaana lwa bannamawulire ku media center wano mu Kampala. Abaddukanya eddwaliro ery’e Mbarara basanyufu oluvannyuma lw’okuweebwa ebbaluwa ebabakasa okwekebejja endwadde zonna ku mutendera ogw’ensi yonna. Akulira eddwaliro Dr Celestine Barigye agambye nti olugendo lubadde luwanvu. Abatuuze ku kyalo Nkuzongere mu Semuto town kaanso bali mukusatira oluvanyuma lw’omwana wa mutuuze munaabwe okubula mu ngeri etategerekeka bweyali agenze okukola mu Kampala. Abakulembeze abaakalondebwa ku mitendera egy’enjawulo okuva ku Bubondo okutuuka ku Saza wonna mu Saza ly’e Lugazi bakungaanidde ku Lutikko y’e Saza eryo e Lugazi nebakuba ebirayiro mwebeyamidde okuweereza ekerezia n’omukama. Mu ngeri ey’okutaasa obutonde bwensi waliwo bannakyewa abasimbye emiti emitwalo etaano mu Kayunga. Emiti emirala 1000 bagibadde abaatuuze bagisimbe

Agabuutikidde: FULL BULLETIN
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Tags:
Agataliikonfuufu
Agabuutikidde
New Vision