Abatuuze b’e Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso bawanjagidde gavumenti okumaliriza oluguudo lwa Masuliita- Mawale mu bwangu olw’obubenje obweyongedde okufiiramu bannaabwe. Babitumye omubaka wekitundu Paul Nsubuga ali mu kulondoola emirimo gya gavumenti ng abwe baalagirwa Sipiika Anita Among. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Amaka agasoba mu 500 mu District ye Masaka goolekedde okusengulwa mu nteekateeka y’eggye lya UPDF ey’okuzimba ekifo ky’enyonyi z’amaggye ennwaanyi. Kyokka abatuuze bakalambidde nga bagaala bongerwe ku nsimbi okuva kwezo UPDF zeyasooka okubalirira kuba buli kintu kyalinnya ebbeeyi. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Abatuuze abakozesa oluguudo oluva e Matugga okudda e Semuto bavudde mu mbeera nebagumba ku kkampuni ya Cico ekola oluguudo lwa Matugga Kasangat Kira nga balaga obutali bumativu olw’emmotoka zaayo eza Sino truck olw’obubenje obususse. Eggulo lyokka abantu basatu baatomeddwa babiri ku bbo n’afiirawo. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Abakulira amasomero ga gavumenti basabiddwa okulowooza ku ngeri y’okugayitumusa mu kiso kyokusabirira okubatwala mwago agaakulaakulana edda. Bibagambiddwa Commissioner Ismail Mulindwa mu ttabamiruka w’abasomesa abasiraamu. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Abakulira amaka gabaana aga Nsambya Babies Home balazze okusomwozebwa kwebalimu okusobola okunoonya abazadde babaana bebalabirira n'okubafunira obujanjabi era nebasaba buli muzirakisa okubakwatizako era nebebazza aba Movit products okubadukirira. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Mu kaweefube wookukendeeza obubenje abakulira ekibina omwegattira abagoba ba lukuulana batongozza okusomesa baddereeva obubonero bwo ku nguudo. Bakungaanidde Busega. \\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\ Edwaliiro ly'e Kawempe National Referral lifunye ebyeyambisibwa abakyala mu kuzaala okuva mu kitongole ekitambuzza, okutereka n'okubunyisa eddagala mu ggwanga ekya Joint Medical Stores ebibalirirwamu obukadde bw'ensimbi 25.