Vidiyo

AGABUUTIKIDDE FULL BULLETIN

Poliisi mu Kampala eteguludde bbomu ebadde etegeddwa mu Flask y'emmere ku mulyango oguyingira ku kkanisa ya Lubaga Miracle Centre Cathedral ey'omusumba Robert Kayanja. Bakutte n’omuvubuka ateeberezebwa okubeera omu ku batujju ba ADF abagambibwa okutega bbomu eno. Abooluganda lwa kkansala eyattiddwa olw’enkaayana z’ettaka e Ntoroko balajanidde poliisi bafune obwenkanya. Kkansala ono yafiiridde mu ddwaliro e Mbarara gyeyaddusiddwa okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw’okutemebwa Omugagga Frank Rushanganwa, minisita omubeezi owebyetakka Dr Sam Mayanja, gweyalagira bakwate omwezi oguwedde olwekusengula abantu ku takka ku Kyalo kammengo, e Maddu, Gomba avudemu omwasi ku nsonga ezamukwasa nga agamba nti minisita mayanja yawubisibwa abantu abenonyeza ebyabwe. Asabye abakulu mu gavumenti bamuyambe Minisita omubeezi owamagana Bright Rwamirama akuutiddde abalunzi b’ente z’amata okussa amaanyi mu kwongera omutindo ku mata n’okukuuma omutindo kyongere okutangaaza emikisa gy’akatale wabweru w’eggwanga. Minisita okwogera bino abadde atongoza ebyuma ebinnyoza amata n’ebigongerako omutindo gavumenti nga eyita mu NAADS byewadde abebibiina by’abalunzi mu bugwanjuba bwa Uganda okubayamba ku mutindo. Abatuuze ku kyalo Muzibo mu ggombolola ya Ssaabawaali Ngogwe mu ssaza ly’e Kyaggwe beesambye enteekateeka y’obwakabaka ey’okusimba emiti okusobola okuzzaawo ekibira kya Kabaka engenda okusasaanira amasaza ga Buganda gonna. Bano bategeezezza nti babadde basuubira nti bano bavudde Mengo kugenda kubagoba ku bibanja byabwe wadde ng’oluvannyuma babategeezezza ng’okutya kwe balina bwe kutali kutuufu. Abalangira n’abambejja bajaguza okuweza emyaka 800 bunkya olubiri lwa Ssekabaka Winyi Chwa Male lutandikibwawo e kibulala mu Ssaza lye Ssingo. Ssababiito Sam Walugembe Kateregga asabye abazzukulu okukuuma ebyobuwangwa nennono. Abaana n’abazadde bajjumbidde ekivvulu kya Green Festival ekyategekeddwa ku mulamwa gw'okwagazisa abaana okukuuma Obutonde bw'Ensi. Kibadde ku kisaawe e Kololo era ng’abaana bonna baweereddwa emiti gy’ebibala okugisimba ewaabwe. Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira asabye Abakristaayo okukola obuteebalaira nga bakola emirimu gya Katonda. Abadde ku kkanisa ya All Sainta e Manyangwa mu kukuza emyaka 120 bukya ezimbibwa n’okuggulawo ekkanisa empya. Bannalotale bakubirizza abazadde n’abakwatibwako obutaleka mwana ow’obulenzi ebbali nga bweguli ku w’obuwala. Bino District gavana wa lotale 9213 Edward Kakembo Nsubuga abyogedde akyalidde bannalotale ba Kampala East e Kasanje.

AGABUUTIKIDDE FULL BULLETIN
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Tags:
Agabuutikidde