Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Rt Rev Dr Samuel Kazimba alaze enyiike olw’abantu abasusse okwesenza mu ntobazi nga muno mwemuli n’abakungu bagambye abatagambwako. Abyogeredde mu makaage g’obwa Ssaabalabirizi e Namirembe bwabadde atongoza kampeyini eya wiiki ennamba eyooukuuma obutonde bw’ensi.