Akulira wofiisi ya ssentebe wa NRM Hajjati Hadijah Namyalo asabye ab’e Bunyoro okwettanira entekateeka za gavumenti okulaba nga enyingiza y’amaka ewangaala. Namyalo, abadde ayogerako eri ab’enzikiriza y’obumu nga bajaguza emyaka 44 bukyanga etandikibwawo e Muhorro mu disitulikiti y’e Kagadi