OMUSAWO mu ddwaliro ekkulu e Bugweri Dr.Jeremiah Nkayimbi afiridde mu kabenje akagudde kukyalo Butende ku luguudo oluva e Iganga okudda e Bugiri. Mu kabenje kano akabaddemu emmotoka ttaano akalese abantu abasoba mu 10 nga basimattuse n’ebisago by’amaanyi.