Abakyala abakatuliki mu ssaza ekkulu erya Kampala bakuzizza olunaku lw’omuwolereza waabwe Nasiyaata kyokka abakulu mu Klezia ne bennyamira olw’abazadde abakyatuuma erinnya eryo nga bagamba kkadde nnyo.Olunaku luno Malayika Gabudyeri lwe yatwalira Maria amawulire ag’essanyu nti alizaala omwana wa Katonda.