Ab'ekisiinde kya PLU bakuyigira pulezidenti Museveni akalulu mu Kampala nga batambula nju ku nju. Bino byanjudwa omumyuka we kisinde kya PLU Micheal Nuwagira mu lukungaana lwa bassentebe b'ebibiina bya NRM ne PLU mu magombola ataano agakola Kampala olubadde ku Bat Valley mu Kampala.
Sophia Kenyányi akulira ekisinde kya PLU mu Kampala yasiimye ba ssentebe abajumbidde olukungaana luno ngate amawulire bagafunye mu budde butono, Kino kiraze nti batambula nbantu abatufu.