Aba King of Kings amaanyi bagatadde mu kusimba miti gya bibala bafune ebyokulya nga bwe bakuuma obutonde

ERIMU ku masomero agajjumbidde enkola ey’okusimba emiti gy’ebibala ku ssomero ate n’okuteeka amaanyi mu kusomesa abayizi endabirira y’emiti gino lye lya King of Kings Junior School.

Aba King of Kings amaanyi bagatadde mu kusimba miti gya bibala bafune ebyokulya nga bwe bakuuma obutonde
By Emmanuel Ssekaggo
Journalists @New Vision
#Emboozi #Green Schools debate

ERIMU ku masomero agajjumbidde enkola ey’okusimba emiti gy’ebibala ku ssomero ate n’okuteeka amaanyi mu kusomesa abayizi endabirira y’emiti gino lye lya King of Kings Junior School.

Moses Samuka ng'annyonnyola.

Moses Samuka ng'annyonnyola.

Lino lisangibwa Bulesa mu munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso. Lino bw’olituukako, owulira obunnyogovu obw’enjawulo era abayizi baalyo babeera mu mbeera eweweera obudde nebwebuba bwa kyeya.

Essomero lino litudde ku yiika 12 wabula nga bwe weetooloola ettaka lyonna lijjudde emiti naddala egy’ebibala.

Mu ngeri y’emu, bw’otuuka ku ssomero lino, okaluubirirwa n’okulaba ebizimbe olw’emiti emingi egiri ku ssomero lino era lino libeera liwewera ekiseera kyonna nga kizibu omusana okuyita mu miti egiri ku ssomero okusingira ddala egy'ebibala ate n'egy'ebisiikirize.

Ffene, ogumu ku miti gy'ebibala gye balina.

Ffene, ogumu ku miti gy'ebibala gye balina.

Tweyagala okubeera eky’okulabirako eri ab’ekitundu ku kutaasa obutonde bw’ensi.

Moses Samuka omutandisi w’essomero lino agamba nti, ensonga lwaki twasimba emiti egiwera ku ssomero, twayagala okubeera ekyokulabirako eri abantu b’ekitundu kyaffe ate n’eri abazadde abatuwa abaana nti kikulu nnyo okusimba emiti olw’emigaso egy’enjawulo gyebgirina.

Wabula, bwe twalowooza ku bika by’emiti eby’okusimba, twasalawo tuteeke amaanyi ag’enjawulo ku miti egy’ebibala kubanga twakizuula nti bwe tunaasimba gino, tujja kuba tutaasizza obutonde ate nga tufunye n’ebyokulya bya baana baffe.

Essomero lijjudde emiti eginyirira.

Essomero lijjudde emiti eginyirira.

Ffenna tumanyi nti ebibala birimu ebiriisa bingi, kati ebisinga ku bye tuwa abaana baffe tubinoga ku miti egiri ku ssomero ate ne ku ttaka ly’essomero lyonna.

Omwana bw’ava obuto ng’alaba nti ‘omuti gutuwa ebyokulya’ ne bw'akula tajja kubeera mw’abo abasaanyaawo emiti mu ggwanga naddala egy’ebibala.

 

Ab’oku kitundu batandise okusimba emiti nga balabidde ku ssomero lyaffe

Samuka agamba: Abantu bangi ab’oku kitundu bajja ku ssomero ne balaba emiti egiriko ate n’akawewo akaliwo nga ka njawulo, bwe badda awaka waabwe nga nabo banoonye endokwa z’emiti nga bazisimba nabo basobole okufuna ebibala.

 Buli lwe bakola kino, baba bagoba enjala awaka ate nga bwe bataasa n’obutonde bw’ensi.