Omuko Muhammad Yiga amaze wiiki ennamba ng’abanja ebintu byeyawaayo mu kwanjulwa olubifunye n’abuulira basajja banne okwetegereza ennyo amaka mwebawasa baleme okugwa mu bizibu nga byeyaguddemu. Ono gwetusanze e Buloba ategeezezza nti yasuze afuna amasimu okuva mu bakyala nga bamusaba okubamako ennaku.