Ssenga: Akamasu akali mu kukuuma ‘ettama’

ABAKAZI buli olukya bayiiya engeri y’okucamula abasajja basobole okunyumirwa obulamu. Bangi bwe baakitegedde nti abasajja banyumirwa nnyo bwe batunula ku bukyala nga buwaze oba nga bukoze ‘omugugu’ olwo kwe kuyiiya engeri gye bafunamu ‘omugugu’ guno baleme kukwebera.

Ssenga: Akamasu akali mu kukuuma ‘ettama’
By New Vision Journalist
Journalists @New Vision
#Okukuuma #ettama #akamasu

ABAKAZI buli olukya bayiiya engeri y’okucamula abasajja basobole okunyumirwa obulamu. Bangi bwe baakitegedde nti abasajja banyumirwa nnyo bwe batunula ku bukyala nga buwaze oba nga bukoze ‘omugugu’ olwo kwe kuyiiya engeri gye bafunamu ‘omugugu’ guno baleme kukwebera.

Waliwo abakozesa ebintu eby’enjawulo bye basiiga ku bukyala okwewala ‘amatama’gaabwo okusereba, ate abalala bagula ‘amatama’ agakolebwa olwo ne bagambala ssaako obugoye obubakwata omubiri, omusajja bw’amulengera n’alowooza nti ddala omuwala ‘mwali’.

Mike Sendagire ow’e Bweyogerere eyasangiddwa mu Kampala yagambye nti; Omusajja buli lw’alaba omuwala ng’asibye bulungi ‘omugugu’ ebirowoozo biddukirawo n’atandika okukuba obufaananyi nga bali bombi e Namboole. Ono agattako nti; Abasajja abasinga bakimanyi nti tayinza kubeera na muwala oba omukazi alina obukyala obwatuutiira n’atamusanyusa mu kitanda, kubanga nti batera okubeera n’agemugga agawera!

Kojja Kitonsa  agamba nti,  obukyala bulina ebitundu eby’enjawulo okuli olubalaza, amatama, emitunsi n’ebirala. Olubalaza kye kitundu kya waggulu obukyala gye butandikira ate ‘amatama’ bye bitundu ebibiri ebyawula ekkubo wakati w’obukyala. Naye kizibu okusanga omuntu alina olubalaza n’abulwa ettama naye kyangu kusanga alina ‘ettama’ ng’olubalaza lweveera.

Ebika by’obukyala

Ebika by’obukyala biri bisatu okuli;

  1. Obukyala obw’ekinyi; Buno kyangu okuba n’olubalaza n’amatama kuba bukula n’omubiri munene ate bwe busanga omukazi amanyi okwefaako obulungi busobola okukula ne buyitirira. Era ku bakazi abamu bw’aba teyagenda bulungi wa ssenga ensekese ne ziwera, amatama gasobola okukweka abalongo n’akakukufa okusibuka abalongo ng’okubituukako osooka kwetoziira. Olw’ekikula kino, busikiriza nnyo abasajja naddala ng’omukazi ayambadde engoye ezimunyweza obulungi. Abasajja abakugu mu nsonga zino bagamba nti omukazi eyakula bwati, basobola n’okumumanya wadde abeera mu ngoye ezitalaga bitundu bino. Kitonsa agamba nti abakazi ab’ekika kino;
  •  Abeera atunula ng’ava mu tulo.
  • Abeera n’omumwa gwa waggulu nga guliko akabebenu,
  • Ebibatu byabwe biba bimpi.
  •  Agattako nti, obukyala bw’ekika kino ekirungi kyabwo, bukuuma ebbugumu era baba n’ensulo ezitakaliza. Wabula agamba nti ssinga asanga omusajja atawera bulungi, ayinza obutanyumirwa kuba ag’emugga gayinza okuyitirira. Wabula agamba nti ekizibu ky’abakazi bano oluusi bazibu okutuusa ku ntikko y’omukwano kuba akakukufa kayinza okukaluubiriza omusajja okukatuukako olw’engeri gye kaba keebisse, sso ng’eno y’entabiro y’obuswandi bw’omukazi.

 Obukyala obw’olusoggo:

Obukyala buno tebubeera na matama wabula bubeera n’olubalaza olugazi era ekibuyisa olusoggo nti buva waggulu nga bugazi ne butuuka wansi ne bufunda olw’obutabeera na matama era bwe businga okwanguyira abasajja abasinga kuba abakyala ababulina batuuka mangu ku ntikko. Kino kibeerawo olwokuba nti buli kitundu ekireeta essanyu ly’omukyala kiba kungulu okugeza akakukufa n’abalongo era omukyala ne bw’aba teyaweza balongo, munne asobola okutuuka wonna w’ayagala era ne banyumirwa.

                                Kojja Kitonsa

Kojja Kitonsa

Kw’olabira omukazi alina ekikula ky’olusoggo

  • Batera okuba n’ebigere/engalo empanvu era baabeera n’ekiwato ekyayawula obulungi.
  • Babeera batono waggulu, bagejja kutandikira ku kabina n’okudda wansi oba abeera ne ffiga 6.

Ensinisi: Kino kye kika ekyogerwako ng’ekijjudde, kuba olubalaza n’amatama byonna biba byenkana. Ono okumumanya;

  • Babeera n’empataanya mu magulu era ne bw’aba ayimiridde wakati mu bisambi wasigalawo omuwaatwa.
  • Amaaso gaabwe tegatuula mu kiwanga ate ebiseera ebisinga bwe baba baseka baba tebaagala kulaga mannyo.
  •  Ebiseera ebisinga amatama gaabwe ag’omu maaso gaba n’obunnya ate gafuna mangu enkanyanya.

Ekizibu kye balina nti omukyala eyakula bwatyo abeera yeetaaga omusajja atwala obudde obuwanvu kuba alwawo okuwulira omusajja olw’okuba nti ebitundu bye biba byamanyiira okukoonebwako engoye buli kaseera obwagazi ne bukendeera.

Sitayiro z’akaboozi ezoonoona amatama

 Ak’embarara: Ssinga kasanga omusajja atamanyi kukazannya nga w’asanga w’akuba kigoonoona. Alina kukoona ku balongo n’akakukufa ate ng’akutambuza mu ngeri ya kasaalaba.

Sitayiro eya 90: Eno omusajja akwata okugulu kw’omukazi okumu n’akuwanika ng’okulala kuli wansi naye eyonoona amatama kuba okugulu kugenda n’ettama erimu ate eddala ne lisigala wansi era ekyo bw’okikola ebbanga eddene amatama gaba tegenkanankana.

Okusinziira emabega: Naddala ng’omukyala alina obukyala bw’olusoggo kuba amatama gabaako matono ddala ate nga gali wansi era omukyala bw’akutama galabika nnyo emabega era bwe kisanga omusajja eyagejja obulungi anyigiriza amatama ago.

Omuwala Ng’awummuddeko Ku Bbiici.

Omuwala Ng’awummuddeko Ku Bbiici.

Okuuma otya amatama obutaggweerera

Kojja Kitonsa agamba nti omukyala ateekeddwa obutanaaba mazzi gookya mu bukyala kuba galeetera amatama okuyenjebuka n’okukola olukanyanya ne gakaddiwa.

Okulwawo nga tova mu nsonga buli kadde nga weesabise ppaadi nakyo kiyenjebula amatama era kiba kirungi buli mukazi oluva mu nsonga n’osiigayo woyiro w’ensogasoga, oba okunaabayo ebikoola by’omukuza, ebya ka mubiri oba magejjo oba eby’embutamu. Bino obiyenga n’obiteekayo olwo n’oyambala akawale. Kino kiyambako amatama okudda obuggya.

Agattako nti, omukyala olina okuba omwegendereza ng’okyalira ensiko oleme kusika kitundu kitali kituufu ebikyamya amatama.

Allan Ssendegeya amanyiddwa nga Kojja Allan agamba nti abasajja bettanira nnyo abakazi abalina amatama olw’okuba galabisa bulungi nnabunya ng’eggumidde olwo omusajja n’ayongera okwesunga.

  • Abasajja abamu bagazannyisa mu kadde k’okuwummulamu ekimuyamba okudda mangu engulu n’okufuna obwagazi.
  •  Omukyala alina amatama amanene abeera n’ebbugumu eriwera ekiyamba omusajja okunyumirwa wadde nga n’abalina amatono nabo babeera babuguma.
  •  Amatama amanene gakola ng’engabo eri akakukufa akasibukako obwagazi bw’abakyala ne kaba nga tewali kintu kibi kikatuukako kuba kakulu nnyo mu bulamu bw’omukyala yenna.
  • Amatama gawa abakazi okwekkiririzaamu n’obuvumu era bw’agenda mu kaboozi naye aba teyeetya olwo ne kimuyamba okwesumulula obulungi akaboozi ne kabanyumira.

Ekiyondo ekyeru kigezza amatama

Kojja Allan awadde abakyala amagezi okwewala okugula amatama amakolerere wabula bwe babeera baagala okugagezza bettanire ekiyondo ekyeru. Okikalirira ku muliro n’obeera ng’ovumbavumba amatama ago. Bw’okikolera ebbanga eriwera kiyambako okugagejjesa.

                  Beatrice Bbosa

Beatrice Bbosa

Beatrice Bbosa, ssenga wa Amin street e Zzana agamba nti abawala bamanye akabi akali mu kwambala ebintu ebikolerere kuba kivumaganya buli mukyala naye okusinga byonna kitta omukwano. Abawala beerabira nti bwe batuuka ew’omusajja ate babyeggyamu kati awo omusajja ne bwe yandibadde alina ebigendererwa by’okukuwasa bifa n’obwagazi bw’alina bukendeera kuba bw’abadde akusuubiramu tobirina ate nga bye bimusikiriza era ekyo kiremesezza bangi okufuna obufumbo.

Abasajja abasinga akwana omuwala ng’ebirowoozo bimuli ku kwegatta era bw’akutuusa n’akusanga ng’oyambadde bikolerere amaanyi gamuggwaamu.

Buli omu aba n’ekimukolera

Micheal Wasswa ow’e Kireka: Omukyala atalina matama y’asinga okunnyumira kuba tabeera n’ag’emugga mangi, ate nga nze tegannyumisiza bulungi kuba munnange mba simuwulira bulungi. Alina amasaamusaamu akabiri kaba katonotono nga buli kitundu nkikoonako bulungi ne kinnyongera obwagazi.

Aidah Nabirye,Mutungo: Mpulira abasajja abagamba nti abakazi abalina amatama be basinga okubanyumira nti kuba babeera bagonda. Naye abawala bakola kibi okugula amatama amakolerere kuba obeera ofera omusajja.