NNYABO nsaba kukwebuuzaako katono, olowooza enkota y’ettooke etuuse ku ssente nga mmeka waliwo ali mu kumbala omufuulo wano?
Nze mbuuza ku bintu by’amasannyalaze nga ppaasi, wuufa, soketi n’ebirala. Eby’amatooke sibitegeera bulungi.
Abawala b’e Kampala n’okwekoza, kati mbu tomanyi bbeeyi y’amatooke tugambe ewuwo togawaata oba tofumba olya mu wooteeri mwokka?
Okufumba sinnakwegaana naye nfumba mwami wange by’aguze sinonooza birala.
Wano Ng'anekaanekanye Mu Kiteeteeyi.
Sooka olindeko katono, oba mpulidde bubi ninga akuwulidde oyogera ku mwami tongamba nti oli mukyala mufumbo awedde emirimu?
Akabuuza kaggyeeko osseeko akawummuza kuba obufumbo mbumazeemu emyaka kati mukaaga.
Njagala kukakasa oba byong’amba bituufu, mpa ku mannya go, gy’obeera n’emyaka gyolina?
Nze Joan Baraka Katana nina emyaka 26 era nga mpangaalira Kyanja.
Kati mu mannya g’oyogedde siwuliddeemu bw’ogamba nti nze mukyala Ssentumbwe, Mukasa oba Mukiibi olaba bwenkukutte nti onnimba?
Obwedda njogera amatu ogataddemu nvumbo, kyogamba erya Baraka toliwudde wewugulaza nnyini.
Eeeeee maama ononsonyiwa, kiki ekyakukeeza ekkomera ly’obufumbo mwana ggwe ne weemalako essanyu ly’obuvubuka lyo lyonna?
Ani akugambye nti ndi mukomera, kano akanyiriro kendiko nnyinza okuba nga mbonaabona?
Mpolampola tonnumya nnyo, kati alwo ekirowoozo kyokufumbirwa ani yakikuwa era wansiziira ku ki okubuyingira ng'oli muto?
Bwe nnafuna omuntu omutuufu ne neebeereramu anti munnange bagamba linda kiggweeyo yafumita mukira nali siyinza kulinda wa mbazzi kumbagulizaako, abasajja abategeera tebakyafunika.
Naye ebyaddala oli kalungi bulala ne bwe nnandibadde nze nga nze Baraka nalina okukwanguyira nga tebannakupaaza, olwo ye akugamba mbu kiki ky'asinga okukwagalako?
Mbu ayagala nnyo enkula y’omubiri gwange ate mbu ndi muwala mukozi.
Mu bigambo byonna ebyakugwambwa ng’ogenda mu bufumbo, kiriwa ky’ogamba nti kye weesigamyeeko n’okutuusa essaawa eno era ani yakikugamba?
Maama wange Catherine Birungi yang’amba nti obulamu mu bufumbo nga bulimu okutya Katonda si buzibu nnyo ng’abantu bwe babyogera naye ffe ababubeeramu ffe tubufuula obuzibu.
Wamma ggwe olowooza kiki ekidibizza bawala bano ku mpya za bakadde baabwe yadde nga baatuuka dda okufumbirwa?
Abawala abasinga baagala nnyo ebigguluupu, bwalaba munne bye bamukolera mu bufumbo nga naye akalambira nti anoonya omuntu alina ebintu ebiringa ebya bba wa Joan n’atamanya nti buli muntu Katonda yamutonda bubwe.
Mpaayo ekintu kimu ekisinga okukusanyusa obulamu bwo n’ekyo ekisinga okukunyiiza Baraka kye yasooka okutegeera?
Ekisinga okunsanyusa nga nkola ssente ate ekisinga okunnyiiza ng’omuntu gwe nneesiga angiyeeyo.
Kintu ki mwami Baraka ky'ayinza okukola n’okola olutalo oluyinza n’okuleetera Chairman okutuuza olukiiko lw’ekyalo?
Kuzaala mwana bbali, ekyo kaali kikola ndiyita n’Abaagataliiko nfuufu.