Ssanyu ; "Sisobola kuganza muntu akola mulimu gwe nkola"

"Mu ffirimu mulimu ssente kasita obeera omugumiikiriza"

Ssanyu ; "Sisobola kuganza muntu akola mulimu gwe nkola"
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Ssanyu #Ssenga #Kunyirira #Kuyiriba #Byana biwala #Mukwano

NNYABO nkulabye otunuulidde nnyo atunda kasooli ne ngamba kankugulireyo olyeko kirabika omuyoyezza?
Owaaye gwe ajja annandukirako nkulabikidde ng’enjala gw’eruma.

Eeeeee maama mpolampola obukambwe nga bungi Winnie Nwagi bwotyo bwe wapacca omusajja oluyi ku siteegi?
Musajjawattu oba enjala ekuluma lya kasooli wo akubukale bulungi nze nvaako.

Ekyamazima omufaananye ekikolo era mbadde mmanyi ngudde ku ssereebu wange, ky’ogamba tolina bw’omuyita?
Naawe no olabika olinamu ku mputtu nkugambye siyenze naye towulira.

Naye kati bwoba si yeggwe Winnie Nwagi, bakuyita ani era obeera wa?
Wabula ondi bukiika bulala, kale nze Aminah Mulungi Nambatya mbeera Bulenga.

Mwana Muwala Ng'anyumidde Mu Kateeteeyi!!

Mwana Muwala Ng'anyumidde Mu Kateeteeyi!!

Ekibi oyanguwa nnyo naawe, ye kati olagawa eyo gy’otayagala kutuuka kikeerezi?
Nyanguwa kusanga rehearsals nga tezinnatandika.

Wamma obwedda byendowooza bituufu ,oli muyimbi lwa kwegaana olabika olina abakubanja?
Nedda nze ndi muzannyi wa firimu munnange.

Otyo nkujjukidde wamma yeggwe eyazanya mu firimu ya Angelo ne Ina, kati lwaki obwedda oneetolooza?
Ndeka munnange tondeeta malala nze nzannya Binnayuganda mu Balina Talents.

Firimu ki gye wali ozannye n’otuuka n’awaka ng’otyayo ng’olowooza bye wazannye byaddala?
Haaaaa bagiyita ‘Omwana we Ndagu’ naye ndowooza bwali buto bwe bwali buntiisa.

Mpulira bagamba mbu mu firimu temuli ssente okuggyako ng’obitaddemu eddogo, wamma bituufu?
Ssente mweziri kasita obeera omugumiikiriza, ky’okola n’okissaamu okwagala ate n’okulembeza Katonda.

Ate bino bye mpulira mbu ba manager musooka kubawa ku kibala ne babawa ebifo ebisava, kyali kikutuuseeko wamma ?
Wabula bannange oba mubiggyawa nze tekintuukangako ate mu kibiina kyaffe buli kimu kirambulukufu.

Kituufu wamma abazannyi ba firimu bwe muzannya ebya laavu mumala ne muyitawo ne mweyagalira ddala?
Abamu bakikola naye nze sikisobola, tulyezimba ddi nga ffenna tuzannya ffirimu.

Waaaaa weeyisaako si kwago amaaso, kati gwe weerabawa mu myaka etaano okuva kati?
Nkukakasa nsuubira okuba omu ku bataano 5 abasinga okuzannya firimu mu Uganda tunula olabe.

Ye maama ng’otunula ng’atalaba,bw'otyo bw'otunula ng’enjala ekuluma oba amaaso gaakula bwe gatyo buli ssaawa obeera oloola buloozi?
Hahahaha ye kiki tonvaako, nze bwentyo bwentunula munnange sirina gwendoolera nvaako.

Muzannyi wa firimu ki mu Uganda nga mukyala akuzannyira ebikukolera?
Bamuyita Mariam Ndagire.

Okimanyi nti oyo nange ankolera ,kati mpa ku nnamba yo naakukubirako tugende tumulabe ffembi?
Owaaye gendayo bibyo, ng’obadde tonnandaba nga tolowooza kugendayo.

Wabula omuntu nga anaakulumya enjala akutuyaniza ku ggolu, kati nze atali muzannyi wa firimu lwaki oneetoolooza bw'otyo?
Omukwabuzi n’atali mukwabuzi bonna boogera nga ggwe, tuli labagana lwe tulidamu okusisinkana munnange ndeka obudde bumpeddeko.