Ssanyu ; Omulenzi gwe nnali nfiirako ennyo n'ankyawa nga tandaalise sirimwerabira!

Okusaba ennyo Katonda mpozzi n’okwewala okwenyigira mu buvuyo obuyinza okundeetera emitawaana binnyambye okwekuumira ku mulimu

Ssanyu ; Omulenzi gwe nnali nfiirako ennyo n'ankyawa nga tandaalise sirimwerabira!
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Scovaria Hughes #Urban TV #Fun Plus #Vision Group #Ssenga #Ssanyu #Mukwano

Nnyabo olaga wa nkutwaleko? Eno emmotoka eyitira Banda, Kireka, Namboole, Bweyogerere

Nedda ssebo, eyo sirina kye nnoonyaayo njagala agenda Muyenga kuba gye mbeera.

Sooka olindeko katono, bwe nkulengeredde ewala nkulabye ng’ofaanana Abayindi, ate ewalala n’ofaananamu Abasomaali, ekituufu kye kiri wa?

Eky’Obuyindi tolimbye kuba kitange gy’asibuka naye nga nazaalibwa wano ne mmange mukyala Muganda, yeddira Mmamba.

Sovaria Hughes ng'anyumye

Sovaria Hughes ng'anyumye

Kati bwe nfuna omukisa, mmotoka yange ne ngivugirako e Muyenga ne nkusanga mu kkubo nkuyite linnya ki? Nze Sovaria Hughes.

Oba amaaso gange ge galiko ekifu, simanyi. Nninga eyali akulabyeko ku ttivvi ng’oweereza? Walaba bulungi nnyo. Nkola pulagulaamu ya Fun Plus ne Saloon Talk ku Urban TV.

Wamma nkujjukidde. Wabula mwana ggwe okimanyi gwe osinga okunyumisa pulagulaamu eyo era nze nkwetegerezza nnyo!

Ngikola bulungi kubanga ebeera yaakuyimba, kuzina n’okuwummuza ebirowoozo ate ebyo mbirinamu ekitone.

Oluusi bwe mubeera ku TV eyo mumanyi okutulumya ne mudda mu kutumira abaami bammwe, ggwe owuwo omuyita linnya ki?

Siri mufumbo naye nninayo omuntu wange gwe nneetegereza.

Wamma sooka onnyumizeeko, kituufu nammwe mubeera n’ebizibu ng’abalala n’emmere n’etuuka okubalema okulya?

Hahahaha... tewali muntu atafuna bizibu, naffe tubeera nabyo naye tetubikuba balala.

Kati gwe kusoomoozebwa ki kw’okyasinze okufuna bukya otandika okukola ku Urban TV?

Okwambala kwa bbeeyi kuba olugoye lw’oyambaddemu, kizibu okuluddamu amangu ate abazitunda beeramula bw’akimanya nti okola ku TV.

Hughes Ng'anyumidde Mu Kyenvu.

Hughes Ng'anyumidde Mu Kyenvu.

Mpaayo omuntu omu gw’otoyinza kuva ku TV nga tomutumiddeeko kuba abeerako buli lunaku?

Maama wange Anisha Resty Nammiiro, mwagala nnyo omukyala oyo.

Kintu ki ekyali kikutuuseeko mu bulamu bwo ne weevuma okuzaalibwaokuzaalibwa ng’oli kiwala kirungi?

Nalinako omulenzi gwe nnali njagala nga mmufaako nnyo nga bw’onoolaba nnakawere ku bbebi we kyokka yankyawa omulundi gumu. Ekintu ekyo sirikyerabira.

Kati omuntu bw’aba ayagala omukyalirenga buli lunaku waakiri mu ssaawa za ‘dinner’ alina kufumba mmere ki eyinza okukusikiriza?

Emmere yonna gy’aba afumbye ngirya kasita tekubulako nkoko kuba empoomera nnyo.

Ng’oggyeeko eky’okubeera omulungi, olowooza kiki ekirala ekikuyambye okwekuumira ku mulimu gw’okola ng’ate eriyo abawala bangi abagwegwanyiza?

Okusaba ennyo Katonda mpozzi n’okwewala okwenyigira mu buvuyo obuyinza okundeetera emitawaana.

Birungi ki by’ofunye okuva lwe watandika okukola ku Urban TV?

Nfunye erinnya, nsisinkanye abantu ab’amannya bangi ate buli kye mba njagala nkifuna mangu bwe mba nninako ekifo wendi.

Mpaayo abantu babiri bokka b’osabira essaala buli lunaku nabo bakufaanane, bagambe nti okola ng’ekyoku-labirako gye bali?

Baganda bange Raymond Hughes ne Ariana Mateo.