Olabika oyagala nnyo mmotoka eno...
Nyooo, ne ku kkeeki gye bankoledde ku mazaalibwa gange yabaddeko.
Lwaki ogyagala nnyo?
Njagala nnyo emmotoka, nakoowa embeera embi.
Malaika Ng'ataddeko Ka Simayiro Akalungi Okuzaama.
Naye nga yiyo oba ya bifaananyi?
Yali yange ne ngitunda okuzimbira maama wange ennyumba, kasita nkyali muto njakugula endala.
Olina emyaka emeka?
23 gyokka.
Eeeee...!! Olabika oli mujimu bujimu. Wabuggya ku ani?
Taata ye yanjawulizaako.
Ate obulungi n’obuggya ku ani?
Ku maama ate yantoolerako akajiiko kamu kokka kuba ate ye mulungi nnyo.
Okola mulimu ki ogwo ogukusasula obulungi?
Nnina saluuni e Kyanja.
Era gy’obeera?
Gye mbeerera ddala ku kaalo ka bagagga.
Nze nkatya n’okukasiibamu!
Anti mwe mwakakwata bubi.
Wangambye oyagala nnyo mmotoka, osobola okugwa mu mukwano n’omusajja atalina mmotoka?
Nze omusajja gwe nsinga ssente talina ky’ang'amba. Njagala nnyo okubeera n’omuntu annyongerako kati omuntu atalina ssente ajja kuba annumya mutwe.
Bwe weebalamu, ozitowa ssente nga mmeka mu by’obugagga?
Hahaha ekyo kiveeko, abantu bajja kuzimba emitima.
Kale mbuulira ebikunyumira osanga tunaakonekitingira
Nnyumirwa nnyo okulambula ebifo ebipya naddala wabweru wa Uganda.
Byakulya ki ebikunyiriza otyo?
Enkoko, amatooke n’ebinyeebwa.
Byonna by’oyogera nga bya bawala Baganda?
Nange ndi muganda nze Daphine Malaika Nalukwago.
Ba Nalukwago tebanzira...
Ate Abenkima tuli babalagavu okuzaama, tetusobola kubaleka kye kimu.
Lwakuba olabika onsinza ssente ate ffe watugobye dda mu kibalo
Gwe nkwagadde, kati ofuuse mwannyinaze.
Kale mwannyinize, omugagga omuto bubaka ki bw’owa bawala banno?
Bakimanye nti abasajja b’ennaku zino bakujooga tolinaamu ssente. Noolwekyo, abawala mbakubiriza okukola ennyo, babeemu n’akasente akaabwe baleme kujoogebwa
basajja abajja okubaperereza.