Omukazi by'olina okukola okuganja mu 2022

TERI mukazi atayagala kuganja ewa bba. Era okukakasa kino, bakola bingi omuli n’okwerunga okusobola okusigala nga baganzi mu maaso g’abaami baabwe basobole okubongera ekisanja.

Omukazi by'olina okukola okuganja mu 2022
By Ssenga wa Bukedde
Journalists @New Vision
#Ssenga

Mu mwaka guno ogwa 2022, omukazi ayagala okuganja alina okwekwata bino;

Okukola: Embeera y’ebyensimbi yakalubamu olw’okugootaana kw’emirimu okwaleetebwawo ekirwadde kya ssenyiga omukambwe. Kisuubire nti n’omwaka guno, ssente okuzifuna zandiba eza kaweereege nga ggwe omukyala eyamanyiira okusabiriza ssente kyefumiitirizeeko kuba n’abasajja baakoowa abakyala ababasaba buli kamu. Ggwe anaayaayaanirwa omwami wo mu 2022, okukola kikulu nnyo kubanga abaami nabo baagala nnyo omukyala ng’olumu anaasobola okumwongerezaako.

Omukyala akola asanyusa omusajja

Omukyala akola asanyusa omusajja

Asonyiwa: Omukyala ayaayaanirwa, asonyiwa. Tozza byabanyiiza omwaka oguwedde ate n’obiyingiza mu 2022. Teri musajja ayagala kumujjukiza ebyaliwo omwaka omukadde naddala nga byannaku.

Omukyala atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe: Buli mukyala lw’amanya obuvunaanyizibwa bwe n’abutuukiriza, omusajja amufiirako. Omukyala buvunaanyizibwa bwo okuyonja awaka, abaana n’okulabirira omusajja awo, okwaniriza abagenyi, okufumba n’ebirala. Kasita onootuukiriza obuvunaanyizibwa bwo, ate kiki ekinaaba kirabankanya omusajja?

Omukyala alabirira abaana be n'afumba abeera wa ttabbu

Omukyala alabirira abaana be n'afumba abeera wa ttabbu

Okubeera ky’olina okubeera awaka: Omukyala awaka beera maama, alera abantu oba abaana bonna ababeera mu maka nga tafuddeeyo ku b’azaala ne b’atazaala. Beera mufumbo, okubeera omufumbo kitegeeza okubeera omufumbi afumba emmere ewoomera omusajja. Enjogera z’abakyala abaalemwa zigamba nti; ‘Omusajja teyawasa wooteeri’ bikufeebya bufeebya. Omukyala weeyise ng’omukyala bw’alina okweyisa oyambale bulungi mu nnyambala eweesa balo ekitiibwa.

Omukyala omufumbi yeeyagaza bba

Omukyala omufumbi yeeyagaza bba

Empisa kikulu: Omukyala, weeyisa otya eri balo? Eri abantu b’omusajja obeeyisizaako otya? Beera omukyala nga lw’oba toli waka, abooluganda lwa balo bagamba nti tebajja kukyala anti nga bamanyi teri ajja kubafaako. Kino kikulu nnyo mu bufumbo era bw’oba onooyaayaanirwa omwaka guno, kifeeko nnyo.

 

Beera wa ddembe: Abasajja baagala nnyo okubeera we bafunira emirembe era ggwe gimuwe omwaka guno, olabe bw’ataakuwaane mu banne ne mu booluganda lwe nga bw’alina omukyala omusuffu.