Obukodyo 20 bw'osobola okukola munno n'asigala ng'akuyaayaanira buli kadde

Olina okukola ebintu eby’enjawulo, ebisikiriza kasitoma akugulengako buli kadde.

Obukodyo 20 bw'osobola okukola munno n'asigala ng'akuyaayaanira buli kadde
By Ssenga wa Bukedde
Journalists @New Vision
#Musasi Bukedde #Ssenfa #Obukodyo 20 #Mukwano #Bufumbo

Wali weebuziizzaako lwaki abasajja abamu babeerako n’omukazi akabanga katono n’amala n’amuddukako? Oluusi no kiva ku buntu butonotono, omukazi bw’asobola okwewala, omusajja gw’aba asiimye n’atamulekaawo.

Ssenga Justine Tebagwanya, ow’e Kammengo Mpigi ng’abuulirira abaagalana ng’asinziira ku mukutu gwa ‘YouTube’ agamba nti ennaku zino, buli kintu kya kutaayiza nga ne ssente bw’ogamba nti ogenda kuzinga mikono bakasitoma bakusange mu dduuka lyo, obeera okagudde. Olina okukola ebintu eby’enjawulo, ebisikiriza kasitoma akugulengako buli kadde.

Noolwekyo, oluusi n’omukwano ogutandika gubaako ebintu by’okola ebisikiriza munno okukuyaayaanira. Leero, ssenga Tebagwanya awadde abakyala obukodyo, obunaabayaayaanyiza abaagalwa baabwe buli kadde;

l Sooka wekkiririzeemu nti gwe omuntu asinga abalala bonna. Buli lwe wekkiririzaamu osigala ku mulamwa ne mu mutima n’oteenyooma nti oba omuntu gw’olina tomusaanira. Sooka weerabe nti ggwe asaanidde n’oli naye ajja kukulaba nti ddala ggwe amusaanira.

l Tolekerawo kwekoza wadde muwangaddeko akaseera! Bino binyumira buli musajja nga buli lw’ajjukira omutima guddukira wuwo naye ate jjukira obutakisussa kuba oluusi bwe kuyitirira kitama.

l Tomulaga nti omwetaaga nnyo ne weemalamu nnyo. Bwe weemalamu kitegeeza obeera oweddeyo, kinnyuma ebimu n’obyerekerayo.

l Musiime buli ky’akukoledde ate omuzzeemu amaanyi. Okimanyi abasajja eyo gye babeera bawaana bakyala baabwe obulungi kyokka ne babeekokkola obutasiima? Kirowoozeeko munno omusiime ne bwe kiba ku kantu katono.

l Omukwano gwammwe gunyumise ate ogufuule nti mwangu, gwa kuzannyiikiriza. Bw’obeera nga buli kimu okikalubya oluusi n’omusajja kimuleetera okuggwaamu
amaanyi.

l Amazima galikufuula ow’eddembe. Beera wa mazima, gajja kukuwanguza mu mukwano.

l Beera ggwe, teweefuula ky’otoli olwokuba oyagala okuwangula omusajja. Lwalikusanga nga si ye ggwe gwamanyidde, ekyo kyandimugoba n’atadda.

l Weefuge ekisenge ng’ okola ekisingayo. Bw’okola ebyenjawulo ne bimulalula kizibu obutakomawo.

l Teweefuula atayagalika, oli n’akukwatako n’omusammula eri, n’obeera nga toyagala mikwano, teweetaaga bantu balala, omuntu ow’ekika bwe kiti tayagalika era kizibu omusajja okumulemerako.

l Toyanguyiriza nnyo kukkiriza nsonga za mukwano, buli lw’opapa kimulowoozesa nti ne ku balala oyanguwa ate bw’okalubamu kimuwaliriza okulemerako kubanga alina
kyakwetaagako. Naye ate tolina kuba mukalubo nnyo kuba ate abamu kino kibagoba.

l Tokwatibwa nnyo nsonyi naddala ng’olina obuzibu bw’oyagala akuyambemu. Kino kimuwa amaanyi okumanya nti wa mugaso mu bulamu bwo.

l Salawo lumu, okubeera naye, bw’olaba ng’omuntu gw’oli naye asazeewo naawe salawo mutambulire wamu, kino kijja kumuwa obugumu.

l Mwambalire onyume, buli lw’oyambala n’onyuma akiwa obudde okukulowoozaako nti watutte obudde n’omwetegekera ne kimwagazisa okuddamu okukulaba.

l Fuba nnyo obeere ng’owunya bulungi, weekube akawoowo akawunya obulungi buli lw’ogenda okumusisinkana abeere ng’awanjaga okuddamu okuwulira bw’owunya.

l Oba oli bbize oba toli teweerabira kunyumya naye mboozi ate togiweerako byekwaso biyinza kumutamya okudda gyoli.

l Obumesegi bwe mwesindikira bubeere nga bunyuma buli kadde, kino kimuwaliriza okwagala okuddamu okusisinkana obimunyumize maaso ku maaso.

l Mufumbireko ku mmere, ebirala biyinza okuba tebitambudde bulungi naye ng’emmere yo ewooma nga buli kaseera ayoya kulya ku gy’ofumbye.

l Yogera naye emboozi emuzimba, mubuuze ky’aliko ky’apulaaninga, abasajja bonna baagala mukazi aboongerako.

l Tofuula mikwano gye gigyo, olumu emikwano egimu giyitawo oluusi oyinza okwagala okumanya ebimukwatako ng’obuuza mikwano gye bw’akitegeera kiyinza okumugoba
n’atadda. Weezuulire muntu wo wekka.

l Beera mwerufu gyali mu buli kimu, olumu bw’osirikira ebimu ate n’abyezuulira akulabanga atamwesiga. Bimulage naye akwesige.