Eddagala ly'amaanyi g'ekisajja lye nnagula linzaalidde ebizibu ; amaka gasaanawo!!!

NNALI sirina maanyi ga kisajja ne nfuna eddagala naye siritegeera bulungi kubanga bwe ndikozesa mbeera ng’anywedde omwenge. Ate oluusi nfuna obusungu nga sibutegeera

Eddagala ly'amaanyi g'ekisajja lye nnagula linzaalidde ebizibu ; amaka gasaanawo!!!
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Ssenga #Emboozi

Nabuuliddeko muganda wange n’ang’amba nti kirabika eddagala mulimu enjaga. Nazzeeyo ew’omusawo eyalimpa n’agamba nti tasobola kumbuulira by’ateekamu, wabula nnina kugendera ku mateeka ge yampa. Ssenga sigaanyi amaanyi ngafuna amatonotono naye ntidde obusungu ate n’okuwulira ng’anywedde omwenge. Nkole ntya? Omusajja ng'asobeddwa

Omusajja ng'asobeddwa

Abasawo bangi ennaku zino naye abatuufu batono ddala, abasing banoonya ssente. Era abasajja bangi abanoonya amaanyi g’ekisajja bafuna embeera eno nga bakozesa eddagala. Eddagala erimu eriri ku katale bateekamu enjaga oba ebitamiiza.

Enjaga ewa abantu obuvumu, amaanyi era oluusi n’obusungu. Tomanya oyinza okuba ng’eddagala lye bakuwa bateekamu enjaga. N’ekirala, nga tonnanoonya maanyi ga kisajja olina okwebuuza ddala kiki ekireeta embeera eno.

Oyinza okuba ng’okuze mu myaka. Kino abasajja abamu tebaagala kukikkiriza naye ng’omusajja oba omukyala bw’okula amaanyi oba obwagazi bukendeera kino kya butonde.  Obulwadde bwa sukaali oba puleesa nabwo bukendeeza amaanyi g’ekisajja.

Oluusi embeera awaka nga mulina obutategeeragana nakyo kireeta embeera eno. Ate waliyo abafumbo ng’okwegatta gwafuuka mulimu. Nga bw’omanyi nti ekintu singa mukikola buli kiseera naye nga teri kikyuka embeera eyo naayo ereeta amaanyi okukendeera.

Ate ennaku zino abantu balina ebizibu bingi kale obwongo bubeera mu mbeera ey’okweraliikirira. Kale nga tonnanoonya ddagala, weebuuze ddala mulina buzibu ki mu maka gammwe. Ekirala, eddagala sigaanyi  ery’amaanyi g’ekisajja lingi naye ddala erlikola olimanya otya?