Ayiekoh asuddewo ogwa Maroons mu Big League

May 18, 2021

OLUVANNYUMA lw’emyezi 13 gyokka nga Charles Lukula Ayiekho ye mutendesi wa Maroons FC eya Big League, omulmu gumuzitooweredde n’asaba bannyini ttiimu bamute agende.

Ayiekoh asuddewo ogwa Maroons mu Big League

Gerald Kikulwe
Journalist @New Vision

Ayiekho amanyiddwa nga ‘Mbuzi’ yeegatta ku Maroons mu March 11,2020 ng’adda mu bigere bya Douglas Bamweyana. Wabula bukya abeegattako embeera buli lukya ezze esajjuka, afunye wiini bbiri zokka mu mipiira 10 n’amaliri ga mulundi gumu.

Ku Ssande ekitundu kya Big League ekyokubiri kyaggyiddwaako akawuuwo nga  Maroons ekubwa Paidha Black Angels (1-0) ku kisaawe kya Borokoro e Zombo. Guno gw’abadde mulundi gwa kutaano ogw’omuddiring’anwa nga Maroons ekubwa mu Big League, kw’ossa okukubwa KCCA FC awaka ne kubugenyi mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup.

Abazannyi ba Maroons

Abazannyi ba Maroons

Ayiekho agamba nti omutindo ogw’ekiboggwe ttiimu kw’eri guviira ddala ku mivuyo, okusika omuguwa n’obutakkaanya obuli mu bakungu ne bannyini ttiimu omuli ne bannakiggwaanyizi abaagala okuttattana erinnya lye era awulira akooye.

“ Ndi mutendesi alina erinnya, okukolera mu mbeera bweti sisobola kukiguminkiriza, ky’ekiseera ng’ende mu mutima mulungi nkole ebirala okutaasa erinnya lyange kuba ebigenda mu maaso mu ttiimu tebiwoomesa nnakabululu,” Ayiekho bwe yategeezezza.

Ayiekoh Charles

Ayiekoh Charles

Wiiki bbiri emabega Maroons yawa okulabula abazannyi okuli; Emmanuel Akol, Solomon Walusimbi, Silvester Okello ne Eddy Kapampa, Rogers Teziggwa, abakungu okuli; Steven Ekidu, Allan Anguyo, Justin Akol n’omusawo wa ttiimu Lilian Nansikombi.

Nga bano kigambibwa nti babadde bazannya kifiiriza okulaba ng’omutendesi Ayiekho alemererwa omulimu, ekitongole kisobole okukomyawo Asaph Mwebaze eyaliko omutendesi wa Maroons gye buvuddeko.

Pius Bamwange akulira emirimu mu Maroons agamba nti ensonga zino zeetaaga abakungu ba ttiimu bonna okutuula okukola okusalawo kuba n’abamu babiwuliridde mu mawulire, obubaka obutongole tebunatuuka ku mmeeza zaabwe.

“Tukyekkenneenya ensonga zino n’oluvannyuma tuveeyo n’okusalawo okw’enkomeredde,” Bamwange bwe yatangaazizza. Maroons y’eddiridde asembye mu kibinja kya Rwenzori n’obubonero 7. Bazzaako kukyaza Gaddafi FC enkya Lwakuna e Luzira.

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});