Ab'emmotoka beebugira z'e Kenya

Apr 22, 2021

BANNAYUGANDA abavuzi b’emmotoka z’empaka 8 bawera okukamula entuuyo baddereeva b’amawanga amalala mu mpaka za 2021 FIA ARC Equator Rally e Kenya.

Ab'emmotoka beebugira z'e Kenya

Gerald Kikulwe
Journalist @New Vision

Enkya (Lwakutaano okutuuka ku Ssande) emmotoka ezisukka mu 15 zaakwetoloola ebibuga bibiri okuli; Naivasha ne Nakuru e Kenya mu mpaka z’okulwanira obubonero ku ngule y’Afrika(African Rally Championship).

Yassin Nasser kyampiyoni w’engule y’eggwanga(NRC) sizoni ewedde, oluvannyuma lw’okulemererwa okwetaba mu mpaka z’eggwanga bbiri (Mbarara ne Ssembabule) sizoni eno agamba nti amaanyi ayagala kugateeka ku kukung’aanya bubonero ku ngule y’Afrika(ARC).

“ Guno mulundi gwa kusatu nga neetaba mu mpaka zino (2017,2018 ne 2019), omulundi ogusembyeyo nakwata kifo kya 9. Kino kitegeeza obumanyirivu mbulina era y’ensonga lwaki ssaavuze Ssembabule kuba neekengedde nti emmotoka yange eyinza okufunirayo obuzibu nensubwa eza ARC,”  Nasser bwe yaweze.

Rajiv (2)

Rajiv (2)

Rajiv Ruperalia oluvannyuma lw’okulemererwa okumalako empaka zonna essatu ku ngule ya NRC sizoni eno (Mbarara, Jinja ne Ssembabule), agamba nti ayagala kweggyako kifiini ekimuttira emmotoka ye mu buli mpaka n’atamalaako.

“Guno gwe mulundi gwange ogusooka okwetaba mu mpaka zino, njagala kutega wano na wali, ssinga nnemererwa okufuna obubonero ku ngule y’eggwanga, waakiri naakung’aanyayo ku y’Afrika nga bwe nnyongera okufuna obumanyirivu,” Rajiv bwe yategeezezza.

Duncan Mubiru Kikankane eyaakawangula empaka za Bwera Bistro SMC Challenge Rally ezaabadde e Ssembabule agamba nti guno gwe mukisa gw’alina okutunda erinnya lye ku lukalu olw’Afrika ng’ateekawo okuvuganya mu ku bubonero bwa ‘ARC Equator Rally’.

Bannayuganda abalala abeetabyemu

Ronald Ssebuguzi/Anthony Mugambwa, Kepher Walubi/Asuman Mohammed, Jas Mangat/Joseph Kamya, Hassan Alwi ne Amanaraj Singh Ral.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});