OMUYIMBI eyeeyita Kasi3 alumirizza Vinka okwoza mu luyimba lwe.
Kasi3 agamba nti ye yayimba oluyimba lwa ‘Simugaba’ lwe yafulumya emyaka 5 emabega nti kyokka Vinka yakyusizzaamu katono mu bigambo n’okulutuuma erinnya eddala erya (Sirubala) era n'alwozaamu nga eng'ombo y'ennaku zino bw'eri.