Omuyimbi Veronica Luggya amanyiddwa nga Vinka asambazze ebyogerwa nti yava mu kibiina kya Swangz Avenue.
Gye buvuddeko, abantu ab’enjawulo baategeeza nga Vinka ne Winnie Nwagi bwe bavudde mu Swangz Avenue.
Ng’ayogerako eri abawagizi be, Vinka yagambye nti ebyogerwa si bituufu kuba akyaliyo era musanyufu n’entambuza y’emirimu ng’abatambuza ebigambo ebyo, balina bye beenoonyeza.