Kasalabecca

Omuyimbi Grenade ayimbuddwa okuva e China

Omuyimbi Grenade Official ayimbuddwa okuva mu kkomera ly’e China. 

Omuyimbi Grenade ayimbuddwa okuva e China
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

Omuyimbi Grenade Official ayimbuddwa okuva mu kkomera ly’e China. 

Kigambibwa nti ono yakwatibwa n’asibwa ku Ssande oluvannyuma lw’okusangibwa ng’ayimba so nga yali talina lukusa lumukkiriza kuyimba. 

Joram Mukisa eyagenze naye yakakasa okukwatibwa kwa Grenade n’ategeeza nti entabwe yavudde ku b’obuyinza mu kibuga Guangzhou okukitegeera nti Grenade yabadde ayimbye mu kitundu kyabwe so nga Visa alina ya kulambula mu kifo ky’eyokukola. 

Wabula ono yayimbuddwa eggulo (Mmande) era n’atandika ku kugoba ku by’okukomawo kuno.

Tags:
Ssereebu
Mawulire