Omusama Juliet Zawedde ali Uganda akola by'ayagala

OMUSAMA Juliet Zawedde ali Uganda akola by’ayagala. Yayingirawo nga Juky 14 era ku kisaawe e Ntebe yayanirizibwa omuyimbi Jose Chameleone ne bazadde be Gerald ne Prossy Mayanja n’abantu abalala abaamutonera ebimuli.

Omusama Juliet Zawedde ali Uganda akola by'ayagala
By Josephat Sseguya
Journalists @New Vision
#Zawedde Juliet #America #Musama

OMUSAMA Juliet Zawedde ali Uganda akola by’ayagala. Yayingirawo nga Juky 14 era ku kisaawe e Ntebe yayanirizibwa omuyimbi Jose Chameleone ne bazadde be Gerald ne Prossy Mayanja n’abantu abalala abaamutonera ebimuli.

Zawedde yajja n’omuyimbi w’e Tanzania, Rutta Maximilian Bushoke era tamuva ku lusegere. Kigambibwa nti Julie ng’abasinga bwe bamuyita yajja kuwummulako ssaako okujaguza amazaalibwa ge.

Zawedde Ng'azina Ne Bushoke

Zawedde Ng'azina Ne Bushoke

Akabaga k’okujjaguza amazaalibwa yakategese ku bbaala ya Noni Vie mu Kampala era nga abaagendayo bali bayite bokka nga kaliyo ku Lwomukaaga nga July 19. 

Eno waali obukuumi obw’ekika kya waggulu. Olw’okuba Chamili mu kiseera ekyo yali Burundi gye yalina ekivvulu, akabaga teyaliiko wabula muto we Weasel ne Bushoke be baasanyusa Zawedde n’abagenyi be. Bushoke yayimbiramu ne maama wa Zawedde akayimba akaamucamula. 

Akabaga kaaliko ebyokunywa n’emyenge egy’ebbeeyi. Ku Lwokusatu lwa wiiki eno, Zawedde y’omu ku baagenze ku bbaala ya The Villa e Bukoto.

Eno baabadde bakyazizza Jose Chameleone ng’omuyimbi omukulu. Chamili eyatandise okuyimba ng’essaawa ziri mu 6:30 ez’ekiro bakira asuulamu omuziki ng’eno Zawedde bw’anyumirwa ng’atudde ne Bushoke.

Zawedde yasanyuse n’alinnya siteegi okufuuwa Chamili ssenteera wano we yatandikidde okumunywegera ku matama nga bw’amuwambaatidde. Bwe yabadde ava ku siteegi yamunywegedde ku mimwa, enduulu n’etta abaabadde mu bbaala.

Oluvannyuma Bushoke naye yalinnye ku siteegi olwo bbandi ya VIPI bbandi eyabadde ekuba n’esuulamu oluyimba lwa ‘Usiende Mbali’ lwe yayimba ne Juliana Kanyomozi, olwo Zawedde n’alumba siteegi n’azina nga bw’amunyweza, ekyayongedde okucamula abadigize.

Mu kiro ekyo kye kimu ono Zawedde yalabwako ng’atudde ku Bushoke ng’amuleze wabula ng’alinga akooye ennyo.