Kasalabecca

Olugendo lw'e Dubai lwokezza Nwagi ku luno

Omuyimbi Winnie Nwagi, olugendo lw’e Dubai ku luno lumwokezza. Yabadde ku bbaala ya Venom, emu ku zisinga okucakaliramu Abafirika. 

Olugendo lw'e Dubai lwokezza Nwagi ku luno
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

Omuyimbi Winnie Nwagi, olugendo lw’e Dubai ku luno lumwokezza. Yabadde ku bbaala ya Venom, emu ku zisinga okucakaliramu Abafirika. 

Nwagi nga bw’amanyiddwa okusika abavubuka, ku luno abaabaddeyo, baabadde ba lubatu kyokka nabo, ne beemulugunya nti yayimbye ng’atayagala. 

N’omutegesi w’ekivvulu kino yamwekokkodde nti ye ne maneja we, baatuuse ku lunaku lw’ekivvulu lwennyini.

Nwagi yeewozezzaako nti ennyonyi yamuleka n’asuubiza okuddizaawo abawagizi be, ng’omukisa guzze.

Tags:
Kasalabecca
Winnie Nwagi
Fire baby
Dubai
Lugendo