Kasalabecca

Laavu ya Grenade eyayimba 'afazaali nkuloga" eyuuga ; owuwe alabika tannamuloga!

OMUYIMBI Grenade Official (Deus Ndugwa) eyayimba ‘Bw’ong'aana nkuloga’, abantu abasinga ne balowooza nti asobola okukola buli kimu ku lw’omukwano.

Laavu ya Grenade eyayimba 'afazaali nkuloga" eyuuga ; owuwe alabika tannamuloga!
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

OMUYIMBI Grenade Official (Deus Ndugwa) eyayimba ‘Bw’ong'aana nkuloga’, abantu abasinga ne balowooza nti asobola okukola buli kimu ku lw’omukwano.

Kati kirabika g’akaaba g’akomba, oluvannyuma lw’okufunamu obutakkaanya ne muninkini we MJ Sonia, bulijjo gwe bapepeya naye.

Grenade ne MJ, baatijja n’okulumya abayaaye ng’era laavu etandika bw’eba.

Kati tebakyabeera bombi era kigambibwa MJ yagenda Dubai agatte obulamu. Grenade, ateeka obubaka obukolima ku mutimbagano era obukyasembyeyo yayogedde ku ky’abaagalana obuteesiba nnyo ku bantu nga bakooye.

Tags:
Amawulire
Grenade official
MJ Sonia
Laavu
Nkuloga