King Saha amazaalibwa agakulizza mu bakateyamba

OMUYIMBI King Saha afaayo ku bali mu bwetaavu. 

King Saha amazaalibwa agakulizza mu bakateyamba
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Kasalabecca #King Saha #Mazaalibwa

OMUYIMBI King Saha afaayo ku bali mu bwetaavu. 

 

Bwe yabadde akuza amazaalibwa ge ag’emyaka 36, yagenze mu kifo kya Bakateeyamba e Nalukolongo n’abudaabuda abakadde, abaliko obulemu nga bano batambulira mu bugaali era yabatonedde ebintu omwabadde ssukaali, omuceere, ssabbuuni ayoza n’okulongoosa, ppampa ezisibwa abakadde n’ez’abaana n’ebirala. 

Kng Saha N'omwami Atambulira Ku Kagaali 1212

Kng Saha N'omwami Atambulira Ku Kagaali 1212

Omuyimbi yabadde ne ttiimu ye eya ‘Team Saha The Top King’ ng’enteekateeka yawomeddwaamu omutwe ssentebe waabwe, AlmaKing. 

 

Ababiikira abalabirira bakateyamba baasiimye King Saha ne ttiiimu ye olw’obuyambi buno ne basaba abayimbi abalala okumulabirako.