Joseph Ssennabulya aleese oluvuutu lw’omuzannyo

JOSEPH Ssennabulya, y’omu ku bakafulu b’okuzannya emizannyo gy’oku siteegi wansi w’ekibiina kye ekya Expendables.

Joseph Ssennabulya aleese oluvuutu lw’omuzannyo
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Ssennabulya Joseph #kibiina #Express

JOSEPH Ssennabulya, y’omu ku bakafulu b’okuzannya emizannyo gy’oku siteegi wansi w’ekibiina kye ekya Expendables.

Yacaaka nnyo ku Bukedde TV n’omuzannyo ogwa ‘Ani Musobya’ era ye yali emabega w’emizannyo emirala okuli; Birabwa, Omusaayi mu masang'anzira n’emirala.

Ku luno aleese oluvuutu lw’omuzannyo gw’atuumye ‘Ekimuli mu ddungu’ nga gukwata ku baana abalwanira emmaali y’abazadde baabwe. 

Agutongoza wiiki eno ku Bat Valley era aleese abayimbi okuli; Mesach Semakula ne Haruna Mubiru balage obukodyo mu kuzannya katemba.