Kasalabecca

Gravity Omutujju ne Carol Kasita balese ab'e Kiwoko - Luweero basaba anko

Gravity Omutujju ne Carol Kasita balese ab'e Kiwoko - Luweero basaba anko

Gravity Omutujju ne Carol Kasita balese ab'e Kiwoko - Luweero basaba anko
By: Khasifah Naava, Journalists @New Vision

Gravity omutujju ne Carol Kasiita balese ab'e Kiwoko Luweero babanyeenyeza muntwe oluvannyuma lw'okubakuba omuziki ne bakiggyamu enjawulo.
 
Baabadde mu kivvulu ekyatuumiddwa Okwepicha mu Binyanyanyanya.ekyabadde e Kiwoko mu kisaawe nga waasooseewo mupiira ne pikipiki ez'empaaka.

Eyabadde omugenyi omukulu Frank Mutalaga yasuubizza ab'e Kiwoko nga bwe bagenda okumufunamu ennyo kubanga naye yafuuka mutuuze waayo.

Omugagga Mutalaga (wakati Mu Kkooti Emmyuufu)

Omugagga Mutalaga (wakati Mu Kkooti Emmyuufu)

Wano we yasabide abayimbi abakuba obuyimba ne bukwatayo obutabeera na malala kubanga gasudde bangi mu ntata.

Kefra Beats ng'ono ye yabadde omutegesi yamuwadeyo akakadde k'ensimbi kamuyambeko era n'amusiima nnyo olw'omutima omugabi.

Oluvanyuma Gravity yayingiddewo mu sitayiro ne namuddiguli we  n'asanyusa abantu okujula okufa essanyu ng'enjogera bw'egamba.

Ate ye Carol Kasiita naye abadigize yabalese bamunyeenyezza mutwe olw'okubasandula ennyimba ze zonna ng'eno bwe babiibya n'okunyeenya ku galiba enjole.

Bino byonna byabadde ku kisaawe e Kiwoko - Luweero ku Lwomukaaga ekiro.

Tags:
Kiwoko - Luweero